Mufumbiro ebyokuziika mukyala wo byesonyiwe, kasita okunoonyereza ku musango kwawedde – Omulamuzi Ainembabazi
🎵 Mufumbiro ebyokuziika mukyala wo byesonyiwe, kasita okunoonyereza ku musango kwawedde – Omulamuzi Ainembabazi
Omulamuzi wa Kkooti y’e Kawempe atuula e Kanyanya Doreen Ainembabazi agaanye okusaba kwa Munnakibiina ki National Unity Platform Alex Waiswa Mufumbiro okwokuyimbulwayo akaseera asobole okugenda okuziika mukyala we Edith Katende Mufumbiro eyavudde mu bulamu bw’ensi eno.
Omulamuzi Ainembabazi agaanye n’abantu Mufumbiro babadde aleese okumweyimirira okuli Kitaawe Omulamuzi eyawummula Baligeya Moses n’Omubaka wa Nakawa East era Loodi Mmeeya omulonde Eng. Balimwezo Nsubuga.
Omulamuzi yesigamye ku ludda oluwaabi kyerumutegeezezza nti okunoonyereza kwawedde era betegese okumuwozesa mu bwangu ddala. Omulamuzi era ategeezezza nti omusango oguvunaanibwa Mufumbiro gwa nnaggomola era singa gumusinga wakusibwa emyaka 10 nategeeza nti okusinziira ku kibonerezo ekiri ku musango guno, Mufumbiro ayinza okudduka singa bamuyimbula ku kakalu ka Kkooti.
Mufumbiro avunaanibwa omusango gwokukuma oluliro mu Bavubuka ba NU

