Breaking
News: Bano tebatumalira budde tebali ku mutindo gwa Ngule. JJ agobye abakontanyi ebibuuzo bibalamye! News: Bano Engule ya Radio Simba bajja kugirojja obulamu bwonna! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing · 355 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM
News

Eddwaliro e Luweero litubidde n’omulwadde eyafuna akabenje

February 22, 2024 · Mubiru Ali

Eddwaliro ekkulu e Luweero litubidde n’omukyala Margaret Nanyonjo ngali mu myaka nga 70 oluvannyuma lwokutwalibwayo nga afunye akabenje najanjabwa nga 30-December-2023 wabula nga n’okutuusa olwaleero tewabangawo wa luganda lwe ajja kumuddukira.
Bano bagamba nti Nanyonjo okuva lweyaweebwa obujanjabi tewabangayo wa luganda lwe noomu ajja kumuddukira yadde okumukyalira.
Ronald Ssonko nga ye Medical Social officer w’eddwaliro agamba nti bajanjaba Nanyonjo era nga yalina okusiibulwa wabula nti bwebagezaako okumubuuza gyeyava yayogera ebifo ebyenjawulo ebitakwatagana okuli; Matugga, Kawolo Lugazi, n’ebyalo ebirala mu Disitulikiti y’e Buikwe.
Ssonko ayongerako nti ono teyalina kiwandiiko kyonna era nga tajjukira nagyabeera.
Ssonko asabye abayinza okuba nga bamanyi ab’oluganda lwe okubategeeza bagende bamuddukira ku ddwaliro e Luweero.
Nanyonjo bwabadde ayogerako eri Munnamawulire wa URN ategeezezza nti alina aboluganda lwe e Nabbaale ne Nabutti n’abalala e Buikwe wabula tajjukira bweyatuuka mu Ddwaliro e Luweero.