Minisita Bamulangaki Ssempijja asisinkanye Katikkiro kubye bbago erikwata ku mmwanyi

Enkya ya leero, Minisita w’obulimi, obuvubi n’obulunzi, Vincent Bamulangaki Ssempijja, asisinkanye Katikkiro Charles Peter Mayiga n’ekigendererwa eky’okuwulira ebirowoozo by’obwakabaka ku bbago erikwata ku mmwanyi eryayanjuddwa mu Parliament.

Katikkiro abuulidde Minisita obuwayiro obweraliikiriza obwakabaka ne Minisita Ssempijja naye nannyonyola obuwayiro obwenjawulo obwateereddwamu.

Kamalabyonna agambye nti bakkaanyizza ne Minisita bamuwandiikire ebirowoozo byobwakabaka abituuse ku banne mu Parliament.

Katikkiro ategeezezza nti obwakabaka bwagala omuntu wa bulijjo asembayo abeeko kyafuna, bwaba nga ayambiddwa okugula emmwanyi.
Ensisinkano eno yetabiddwamu aba Uganda Coffee Development Authority, abaakolagana n’obwakabaka mu kutambuza kaweefube w’emmwanyi terimba.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Okwogera kwa Pulezidenti 2019