Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
▶ UP NEXT Wolokoso 9:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 258 listening Simba FM Live

Minisita Aceng agamba buli omu wakufuna mask

August 31, 2020 · Mubiru Ali
Minisita w’Ebyobulamu Dr. Jane Ruth Aceng Ocero avuddeyo olunaku olwaleero nayogera ku nsonga lwaki Bannayuganda abamu tebanafuna mask. Minisita Aceng agamba nti Disitulikiti 44 zezakafuna mask 16,092,780 kwezo obukadde 34 obulina okugabibwa.
Agamba nti waabddewo okusoomozebwa okuleesewo okulwisibwa mukuzigaba. Okusoomoza kuno kuliko material omukolwa mask zibadde zabbula.
Minisita ategeezezza nti basalawo kutandika na Disitulikiti eziri ku nsalo, bazeeko ebibuga ne Munisipaali ne Disitulikiti eziyitwamu emotoka ennene. Minisita agamba nti bategeezeddwa nti waliwo mask ezimu ezitali ku mutindo era nga kkampuni ezo ziragiddwa okutereeza ku mutindo era nga kkampuni etakikole yakusuulibwa era nga kati bali kkampuni erina okuteeka akabonero kaayo ku mask.