lwaki poliisi tesasula munnamawulire gweyakuba – kkooti

Kkooti Enkulu eyise akulira poliisi mu ggwanga, Martins Okoth Ochola okwennyonnyolako lwaki agaanye okuliyirira munnamawulire poliisi gwe yakuba essasi mu kugulu obukadde 49.
Ochola ayitiddwa wamu n’akulira embeera za bakozi mu poliisi Erasmus n’omuwandiisi wa Poliisi Rogers Muhirwa nga balagiddwa okwewozaako mu nnaku 15 okuva kati.
Kino kiddiridde munnamawulire Gideon Tugume okubaloopa mu kkooti ng’agamba nti bagaanye okussa ekitiibwa mu ndagaano gye baakolera mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu gye baakola nga July 25, 2017 bwe beeyama okumuliyirira obukadde 49.
Tugume agamba nti yakubwa essasi mu kagulu mu biseera bya ‘walk to work’ n’aloopa poliisi mu kakiiko k’eddembe ly’obuntu era ne beeyama okumuliyirira obukadde 49 naye kati myaka 3 tebamusasulanga ate nga takyasobola kukola mirimu gye nga bwe yali akola olw’obuvune bwe yafuna.
Tugume agamba nti agezezzaako okujjukiza poliisi obweyamo bwe yakola naye tayambiddwa kwe kusalawo ensonga okuzireeta mu kkooti.

0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply