Kituufu emotoka ya Kyagulanyi tuginoonyerezaako – Omwogezi wa URA

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omwogezi w’ekitongole ekivunaanyizibwa ku misolo mu Ggwanga ekya Uganda Revenue Authority (URA) Ian Rumanyika mu mboozi eyakafubo ne Radio Simba avuddeyo nategeeza nti ddala kituufu emotoka ya Hon. Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine bagimanyiiko nti era mu kadde kano bali mu kukola okunooyereza ku motoka eno.
Wabula ye omwogezi wa offiisi ya Inspectorate Of Government – IGG Ali Munira agamba nti Hon. Kyagulanyi bwanaaba ayanjudde emotoka eno eri Kaliisoliiso wa Gavumenti, Kaliisoliiso yesigaliza ebuyinza okusalawo ku nkozesa yaayo okugeza okugigabira ekitongole ekyobwannakyewa, okugimuwa agitwale oba ekitongole kya IGG okugisigaza.
Share.

Leave A Reply