Kitalo! Omukyala eyakubwa amasasi mu lubuto afudde

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Kitalo!
Omukyala omufumbi w’emmere ow’e Jinja Central Market eyakubwa amasasi mu lubuto nga bavugira ku booda booda mu budde bwa ‘curfew’ afudde. Evelyn Namulondo afudde enkya yaleero mu Ddwaliro lya Jinja Regional Hospital gyeyatwaliddwa mu emergence ward ku lw’okusatu ku makya.
Omusawo mu Ddwaliro e Jinja ategeezezza nti Namulondo yafudde oluvannyuma lw’ebitundu by’omubiri okulemererwa. Abasawo bagamba nti bakoze kyonna kyebasobola okulongoosa ebyenda bye wabula nebakizuula oluvannyuma nti essasi lyayingidde mu kibumba kye nerikyonoona.
Ye Muganda w’omugenzi Agatha Musekwa, agamba nti muganda we teyafunye bujanjabi bumala.

Share.

Leave A Reply