Kitalo! Omubaka wa Yitale mu DRC atiddwa

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kitalo!
Omubaka wa Yitale mu Democratic Republic of the Congo Luca Attanasio 44, n’abantu abalala 2 batiddwa enkya yaleero mu bulumbaganyi obukoleddwa ku Convoy ya United Nations mu buvanjuba bwa DRC.
Obutemu bubaddewo ku ssaawa nga nnya ez’okumakya abatamanyangamba bwebabadde bagezaako okumuwamba mu kabuga k’e Kanyamahoro, kiromita ntono nnyo okuva ku kibuga Goma mu Virunga National Park.
Luca atiddwa n’omusirikale wa Military Vittorio Iacovazzi 30, abadde amukuuma wamu ne Ddereeva we.
Share.

Leave A Reply