97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Katonda kuuma Kabaka waffe – Abasodokisi

“Ayi Katonda waffe omusukkirivu, Ggwe ajjudde obulungi n’obwagazi eri abantu bo! Ng’omaze okutuyisa mu kyafaayo ne mu kigezo ky’okusattulukuka kw’Obuganda ne Yuganda. Ggwe wennyini watuuza Omuweereza wo era Kabaka waffe Ronald Muwenda Mutebi II ku Nnamulondo ya Bajjajja be, kaakano emyaka 32. Tukwebaza ffenna wano era tukutendereza olw’ekirabo kya Ssaabasajja ono gye tuli!”

 

Kino kitundu ku ssaala y’Abaadiventi e Namungoona, gye basomye leero mu kusaba kw’okwebaza Katonda nga Kabaka Mutebi II aweza emyaka 32 ku Nnamulondo.

Minisita Israel Kazibwe Kitooke y’atuusizza obubaka bw’Obwakabaka mu kkanisa eno ate Ssaabalabirizi Jeronymos Muzeeyi y’akulembeddemu okusaba.

#amatikkira32 #kabakamutebiii

#ffemmwemmweffe

About Mubiru Ali

Leave a Reply