Jjajja wa Olulyo Olulangira era Ssentebe wOlukiiko lwa…
Jjajja wa Olulyo Olulangira era Ssentebe w’Olukiiko lwa Obuwangwa n’Ennono mu Bwakabaka Omulangira Luwangula Basajjansolo, nga ali wamu ne abeby’obuwangwa, kyaddaaki batandise kaweefube w’okuzimba n’okuddaabiriza embuga ya Omulangira Kawumpuli Kkubo e Buyego, Bombo mu Ssaza Bulemeezi.
Mu kaweefube w’okuddaabiriza embiri zonna Obwakabaka gwe buliko, ab’ebyobuwangwa bano bagamba nti bagondedde okusaba kwa Jjaja Kkubo okw’okumuzimbira embuga esinga obulungi mu mbuga zonna nga akamu ku kabonero akatuukiriza obukulu bwe.
Omulangira Basajjansolo yebazizza nnyo abo bonna abasitukiddemu mu kaweefube ono ow’okukulaakulanya embuga zino omuli n’abali e mitala wa mayanja abasinze okuwagira enteekateeka eno.
Katikkiro w’Olubiri luno Omulangira Stuart Mutebi Kateregga agamba nti ekiggwa kino kigenda kuzimbibwa mu mayinja era nga enteekateeka z’okuzimba ekikomera okwetoloola olubiri lwona ziwedde.
Jjajja w’Olulyo Olulangira Ssaalongo Luwangula Basajjansolo alambudde e nnyumba enkulu mu lubiri luno etandikiddwako oluv

