Hon. Mpuuga atwala Monitor mu Kkooti

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Akulira oludda oluwabula Gavumenti mu Palamenti Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nalaalika olupapula lwa Daily Monitor nga bwayinza okulutwala mu Kkooti lwakumuwandiikako kalebule.

Ono avunaana Monitor okumulebula nga bweyateseganya ne Gavumenti okuyimbula Ababaka Ssewanyana ne Ssegiriinya abayimbuddwa kukalu ka Kkooti.

Ng’ayita mu Bannamateeka be aba Lukwago and Company Advocates ayagala Monitor emwetondere sinakindi emuliyirire obukadde bwa ssilingi 200 olw’okumwonoonera erinnya.

Share.

Leave A Reply