Hajji Aga Ssekalaala Jnr Obwesigwa lye ddaala erisooka.
Hajji Aga Ssekalaala Jnr; “Obwesigwa lye ddaala erisooka. Singa omuntu aba atunda sukaali naye nga kiro ye tewera, obusigwa bufiirawo nga bizineesi yakatandika.
Ekirala okukola embalirira kikulu, londoola ssente zo wa weziraga okutandikira ku misolo ne layisinsi. Obwetowaze nakyo kikulu nnyo. Weggyeemu amalala, kiriza nti waliyo abalala abayinza okuba nga bakusinga okumanya era okimanye nti okuyiga tekukoma.”
#ffemmwemmweffe
#pakasaforum2025

