Gavumenti bwesala ku ssente zetuwa ezingamya emirimu – Chibita
Ssaabawaabi wa Gavumenti omulamuzi Mike Chibita akiikidde Gavumenti ensingo olw’okusalanga ku nsimbi eziweebwa ebitongole bya Gavumenti kyagamba nti kikosa emirimu mu bitongole bino.
Bino abyogeredde ku mukolo ogw’okutongoza akakiiko akalwanyisa mukenenya mu bakozi mu w’ofiisi ya Ssaabawabi akassibwawo okulwanyisa mukenenya mu bitongole bya Gavumenti.


