FDC n’abawagizi baayo baduukiridde ab’e Bududa
Aba FDC bakyagenda mu maaso n’okungaanya ebintu eby’enjawulo naddala ebikozesebwa mu maka okudduukirira abantu be Bududa abakosebwa okubumbulukuka kw’ettaka. Mukyala Edith Byanyima yawaddeyo ensawo 5 ez’engoye wamu n’ebintu ebirala ebikozesebwa mu maka nga yabikwasizza President wa FDC Patrick Amuriat okubituusa ku bakosebwa.


