Breaking
News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze News: Shakirah Namutebi nga wa myaka 24, yakwatiddwa Uganda Police Force nga kigambibwa nti asangiddwa ne ttivvi enzibe.
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 228 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM

Speke Apartments ewandiikidde Embassy ya America ku bya Don Zella

January 7, 2021 · Mubiru Ali
Abakulira Speke Apartments Wampewo bawandiikidde ekitebe kya Amerika mu Yuganda nebakiwa n’obujulizi ku kyaliwo ku lunaku Nandege Sheilah aka Nalongo Sheila Don Zella lwagamba nti bamubbako emitwalo gya ddoola 9.
Bano bagamba nti Don Zella atanakwatibwa yandigezaako okuva mu Ggwanga nga tanavunaanibwa. Ebbaluwa eraga nti mugandawe Shanitah yali ne Jeremy eyakwatiddwa ng’obubbi tebunabaawo. Abakulira Speke Apartments baagala ekitebe kiveeyo kirwanyisa okusaasanya ddoola ez’ebiccupuli kuba Jeremy yakwatiddwa ne ddoola emitwalo 6 ez’ebiccupuli zagamba nti ezo zeyajja mu room ya Don Zella.