Executive Director wa UCC Hon. Nnyombi Thembo avuddeyo
🎵 Executive Director wa UCC Hon. Nnyombi Thembo avuddeyo;
“Ekitongole ekirungamya eby’empuliziganya mu Ggwanga (Uganda Communications Commission) kyagala okubategeeza ku nsonga z’okweyambisa omutimbagano naddala mu mbeera eriwo kati ey’abamu okugweyambisa mu ngeri emenya amateeka. Embeera eriwo gye twogera ko; tukimanyi bulungi nnyo nti Kkooti etaputa Ssemateeka erina obutundu bweyaggyeewo nga tebukyakola ku tteeka ly’okukozesa obubi kkompyuta n’emitimbagano mu Ggwanga lino.
Obutundu obwo, bukwata ku bintu nga okukozesa obubi “social media” omuli; okuvuma n’okuvvoola abalala, okulaga abaana ebintu ebitasaanidde kulabwa ba myaka gyabwe n’ebintu ebirala. Twagala okubategeeza nti newankubadde Kkooti etaputa amateeka yagyawo obutundu obwo, ekyo tekitegeeza nti Kkooti ewagira ebintu ebyo okubeerawo. Ebintu ebyo bisigala bikyali bikyaamu mu buntu, mu mpisa ne mu mateeka amalala Kkooti geetakwatako. Newankubadde obutundu obwo bwagibwawo, Bannayuganda tubategeeza nti wakyaliwo amateeka amalala mangi agayinza okukoze

