Giweredde ddala emyaka 17 nga Radio simba Ffemmwe mweffe eyuuguumya amayengo ga Radio mu Uganda ne Ensi yonna .

Twatandika mu 1998, nga balowooza nti ketusimbye amakanda ku muvik gw’Abafirika tetulimalako, Wabula kizuuliddwa nti ate kati ye Radio eyiiyiza endala.

Okuva lwetutandika:Olunaku, wiiki, omwezi, omwaka tetuyimirizaamu.. Okuva ku mambya esaze, Binsangawano, Simba Taxi, Ebyemizannyo, Tokammalirawo, Mukulikeeyo, Ekiwanja, Engule, Neeyimbira byange, Amawulire, Luwombo , kyewunyusa,pulogulaamu z’ebyobulamu, Lutindo, Gasimbagane ne Bannamawulire, Muvubuka weyogerere,Awali omukka, wolokoso.. … Bannange menyeki ndeke ki!!!

Kale nno leero tuli Nakivubo mu Kiggunda Ky’omwaka okujaguza n’abawuliriza baffe mu lusekebbuka lw’endongo . Mwebale kutwagala…. Ffemmwe… …. Thenga…

Menu