Eddie Mutwe ne banne bonna bagaaniddwa okweyimirirwa
Okuwa ensala ku kusaba okwokweyimirirwa okwa Bannakibiina kya National Unity Platform okuli; Eddie Mutwe. ne Achileo Kivumbi nga bano bali mu kkomera e Luzira tebaleeteddwa mu Kkooti e Masaka ne banaabwe Wakabi ne Gadafi bbo abaleeteddwa mu Kkooti kugenda mu maaso.
Omulamuzi owa Kkooti Enkulu e Masaka Fatuma Nanziri Bwanika agaanye bano okweyimirirwa. Omulamuzi ategeezezza nti singa bano bayimbulwa kuba kulinyirira ddembe lya Bannamawulire nti nekirala bano banditaataganya obujulizi.
Bya Christina Nabatanzi

