Breaking
News: Eyaliko Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among olunaku lweggulo yalabiseeko mu lutuula lwa Palamenti oluvannyuma lwenaku 83, ngayita ku mukutu News: Tosubwa concert ya Ray G ku Sunday eno nga 9 August ku kisaawe e Kololo. News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon.
ON NOW Ebyemizannyo ▶ UP NEXT Tokammalirawo 2:00 PM - 4:00 PM
Now Playing · 1,614 listening Simba FM Live
ebyemizannyo show photo

On Air

Ebyemizannyo

Bruce Omutabizi

1:00 PM - 2:00 PM 1:00 PM - 2:00 PM
News

Omusirikale wa Poliisi ekubye banne amasasi omu namutta e Kajjansi

December 20, 2023 · Mubiru Ali
Omuserikale wa Uganda Police Force avudde mu mbeera n’akuba banne amasasi okukkakkana ng’omu afiiriddewo ate ababiri nebagendera ku bisago. Ensasagge eno ebadde Wakiso mu ttawuni kkanso y’e Kajjansi mu Kinyarwanda mu Akright Estate, mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Kigambibwa nti abasirikale bano baafunyemu obutakkaanya bwebaabadde banywa omwenge mu bbaala emu ekyaviiriddeko omu okunona emmundu mu maka g’abadde akuuma n’abasindirira amasasi oluvannyuma n’atandika okukuba amalala mu bbanga okugumbulula abantu ababadde batandise okukungaana.
Poliisi y’e Kajjansi eyitiddwa n’eggyawo omulambo n’abaakubiddwa amasasi n’ebatwala mu ddwaliro okufuna obujanjabi.
Omwogezi wa Poliisi owa Kampala Metropolitan Police Patrick Onyango agambye nti bakyanoonyereza n’oluvannyuma bafulumye alipoota ku bibaddewo.