Entries by Mubiru Ali

Bobi Wine ne Lukwago bakyaddeko mu Lusanja

Olunaku lw’eggulo Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine, nga ali wamu ne Loodi Meeya era Munnamateeka Erias Lukwago batuuseeko mu Lusanja abayonoonebwa amayumba gaabwe bwebaali bagezaako okubagoba ku ttaka. Bano babadde balambula okulaba emirimu gyokuzzaawo amayumba gaabwe wegutuuse.

Kitalo! Mukwano afudde

Kitalo! Amirali Karmali, eyatandikawo kkampuni ya Mukwano Industries Uganda Limited yafudde olunaku lw’eggulo mu kibuga Fort Portal. Karmali, yazaalibwa eyo mu gyo 1930 era nga ye Taata wa Alykhan Karmali, addukanya Mukwano Group of Companies mu kadde kano. Alimohamed Karmari, Taata wa Amirali yajja mu East Africa mu 1904 nasenga e Fort Portal. Alimohamed yayagalwa […]

Abudallah Mubiru alondeddwa okugira nga atendeka Uganda Cranes

#SimbaSportsUpdates; Olunaku olwaleero ekibiina ekitwala omupiira mu ggwanga Yuganda ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Kironze omutendesi Abdallah Mubiru nga omutendesi ow’ekiseera owa Uganda Cranes okudda mu bigere bya Desabre Sébastien (officiel) eyagenze mu ttiimu ya Misiri eya Pyramids F.C. Ono agenda kuba ayambibwako Livingstone Mbabazi era nga bebajja okubeera mu mitambo Uganda Cranes […]

Maama azirisa lwa butawa muwala we mulimu ate nga yawa enguzi

Annet Mwasame Maama wa Sulwa Lornah azirikidde ku kitebe kya Disitulikiti y’e Namisindwa oluvannyuma lwa muwala we obutalabikira ku lukalala lw’abakozi abaweereddwa emirimu ku Disitulikiti eno. Mwasame agamba nti muwala we Sulwa abadde akola nga nakyewa ku Disitulikiti eno okumala emyaka 2, era nga yawalirizibwa n’okuwaayo enguzi okusobola okugulirira okulaba nti muwala we aweebwa omulimu […]

Bobi Wine talabiseeko mu Kkooti olwaleero

Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road ow’eddaala erisooka Esther Nahirya azeemu nayisa ekiwandiiko bankutumye eri Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka @Bobi Wine oluvannyuma lw’okulemererwa okulabikako mu Kkooti enkya yaleero ku musango gwa OTT ogumuvunaanibwa. Bobi Wine abadde alina okulabikako ku Kkooti ya Buganda Road ne banne abalala 4 okuli; Nyanzi Fred Sentamu, […]

Abantu beeyiye ku makubo okwaniriza Ssaabasajja

Wadde nga enkuba ekedde kufudemba mu bitundu eby’enjawulo ebya Disitulikiti y’e Kayunga kino tekirobedde namungi w’omuntu okweyiwa ku mugga Ssezibwa ogwawula essaza ly’e Bugerere ku ly’e Kyaggwe okusobola okwaniriza Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi II nga alambuula essaza ly’e lino ery’e Bugerere. Ssabasajja Kabaka wakumala enzingu bbiri nga alambuula essaza lye lino n’ekirubirirwa […]