Attorney General Kiryowa Kiwanuka avuddeyo nawandiikira Kkooti zonna wamu nebitongole bya Gavumenti nga abitegeeza ku nsala ya Kkooti etawulula
🗳️ Attorney General Kiryowa Kiwanuka avuddeyo nawandiikira Kkooti zonna wamu n’ebitongole bya Gavumenti nga abitegeeza ku nsala ya Kkooti etawulula enkayana za Ssemateeka okuyimiriza okuvunaana emisango nga gyekuusa ku buwaayiro: 11, 23, 26, 27, 28 ne 29 obwa Computer Misuse Act, 2023 n’akawayiro 162 aka Penal Code Act, obwasaziddwamu Kkooti. Alagidde emisango gyonna egigenda mu maaso nga gyekuusa ku buwayiro buno okuyimirira embagirawo era gigobwe.
Tewali muntu alina kukwatibwa oba kuvunaanibwa nga besigama ku buwayiro buno.
Wabula abo bonna abasingibwa edda emisango nga bali ku kibonerezo balina okumalayo ekibonerezo kyabwe.
Kiryowa ategeezezza nti tewali kujjulira kwonna kulina kukolebwa ku nsala eno wabula etteeka lizzibweyo mu Palamenti liteerezebwe nga Kkooti bweyalagidde.
Bya Christina Nabatanzi
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

