ani alina okubeera n’emotoka eggula ekubo? – Kadaga

Omukubiriza w’olukiiko olukulu olw’eggwanga avuddeyo nateeka Gavumenti ku nninga eveeyo ennyonyole ku motoka eziggula ekubo ezisusse mu Kampala. Ono agamba nti kino kyetaaga okutunnulwamu kuba abeera mu Jam mu Kampala n’awulira obugombe obuggula ekkubo gyakuba amaaso nga alaba Premio gyebaggulira ekkubo.
Kadaga yatadde Minisita Jeje Odong annyonyole kino naye eyamusabye akadde addeyo yetegereze etteeka erifuga ensonga eno alyoke akomewo n’ekyokuddamu.
Okusinziira ku tteeka erifuga entambula y’ebidduka mu Yuganda erya Traffic and Road Safety Act, Traffic and Road Safety (Rules and Roads) Regulations 2004, High Way Code akawayiro 123(5) lirambika bulungi nti emotoka ezo zokka ezigenda okutaasa obusandali oba obulamu okugeza nga eza Poliisi, emotoka z’amaggye, Fire Brigade ne Ambulance ze zirina Right of Way era nga zikirizibwa okukozesa obugombe wamu n’okukulemberwa emotoka eggulawo ekkubo.
Era mu kawayiro 5(2) Traffic and Road Safety (Rules and Roads) Regulations 2004, lirambika bulungi nti emotoka y’Omukulembeze w’Eggwanga, Omumyuka w’omukulembeze w’eggwanga, Sipiika wa Palamenti, ne Ssaabaminisita w’eggwanga nazo zirina Right of Way era nga zikirizibwa okukozesa obugombe wamu n’okukulemberwa emotoka eggulawo ekkubo.
Etteeka lino era lyongerako nti Omuduumizi wa Poliisi mu Ggwanga alina omubuyinza obuwa omuntu emotoka emukulembera singa ddala ekifo n’ekitiibwa kyalina kyetaagisa kino okugeza nga Abakulembeze ab’ennono.
Wabula enongosereza mu tteeka lino ekkiriza Omumyuka wa Sipiika, Ssaabalamuzi n’omumyuka we, wamu n’emotoka ya ssente eya Bbanka enkulu ey’eggwanga.

No comments

Leave a Reply

LIsten Live

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati 
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa

Throwback 🤟🤟🤟🎤🎤🔥Enyimba Eziyiseeko Emyaka #Wali luddawa Ebiseera Ebyo Mwanatu Twegatteko Live Ku 97.3 #RadioSimba Kati Kati
#OldiesAreGoodies
Sureman Ssegawa
...

3 0 instagram icon
Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama.

Daniel Oketch 37 Ddreeva wa loole egwiridde emotoka ya buyonjo netta Munnamateeka Okoit Rapheal olwaleero Uganda Police Force emukutte nemuggalira ku Poliisi Entebe. Ono aguddwako omusango gwokuvugisa ekimama. ...

66 4 instagram icon