Akabenje katuze 13 ku lw’e Masaka

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Abantu 13 bakakasiddwa nga beebafiiriddewo ate munaana bapookya na biwundu mu kabenje akagudde e Ggolo okuliraana omugga Katonga ku luguudo lw’e Masaka eggulo ku ssaawa ssatu ez’ekiro ekikeesezza olwaleero. 

Ayogerera Police mu bitundu bya Katonga,  Phillip Mukasa atunnyonnyodde nti Kkosita ebadde eva e Kampala (ababaddemu babadde bava ku mbaga)  nga egenda Tanzania era y’e Tanzania T540 TLC  eyabise omupiira n’eyingirira Box Body magulu kkumi UAH 970X era ku bantu 21 ababaddemu,  13 nebafiirawo ate munaana nebaddusibwa mu malwaliro agaliraanyeewo nga  bapookya.

Mukasa agamba nti Kkosita yonna eweddewo era abantu babatemyemubutemi . Kitalo!

 

Share.

Leave A Reply