Abatembeeyi balina okugoberera amateeka g’eggwanga – Betty Kamya

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala Betty Olive Namisango Kamya avuddeyo n’asaasira nnyo abooluganda lwa Olivia Basemera omukyala omutembeeyi  eyagwa mu mwala gw’e Nakivubo n’afiiramu.

Olivia Basemera nga wa myaka 38 omutuuze w’e Mengo mu Kampala yabbira mu mwala n’afiiramu ku nkomerero ya ssabbiiti ewedde bweyali adduka abakwasiza amateeka mu kitongole ekivunaanyizibwa ku Kampala ekya KCCA nga kino kyaviirako abantu bangi okuvumirira engeri KCCA gyekozesaamu amaanyi amangi ku batembeeyi.

Mu Lukiiko oluyitiddwa Loodi Meeya wa Kampala Ssaalongo Erias Lukwago, agamba nti okusinziira ku kunoonyereza okukoleddwa, kizuuliddwa nti omukyala ono yali agobwa abakwasisa amateeka mu KCCA era nga KCCA yeevunaanyizibwa ku bino byonna.

Kamya bwabadde ayogerako ne Bannamawulire ku Media Center mu Kampala, agamba nti wadde kino kyennyamiza nnyo naye abatembeeyi tebalina kukolera mu Kampala.

Share.

Leave A Reply