Breaking
News: Aneewandiisa mu Ngule kukyagenda mu maaso buli lunaku e Bukoto ku Simba. News: Abantu 4 abagambibwa okutta eyali omuduumizi wa Kkiraabu ya SC Villa David Owor, baleeteddwa ku Kkooti yOmulamuzi we Makindye okusomerwa emisango News: Olutindo -Balimwezo-Waliwo Omubaka wa Palamenti eyali yawamba ettaka lyessomero! Wewuunye abantu!
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing · 393 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Abasirikale ba UPDF abakuba abantu basibiddwa emyezi 6

April 9, 2020 · Mubiru Ali

Abasirikale b’Eggye lya Uganda People’s Defense Forces – UPDF basindikiddwa mu mbuzi ekogga bamaleyo emyezi 6 lwakutulugunya Bantu ku nsalo y’e Elegu mu Disitulikiti y’e Amuru.

Bano kuliko Lance Corporal Constantine Winyi Abor, Privates Muhammad Makanga, John Mack Eboku, Robert Mutenga, Sylvester Ayo ne Emma Ayimbisibwe. 

Okusinziira ku mwogezi w’amaggye, Brig. Richard Karemire yategeezezza nti bano basimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti y’amaggye ow’ekibinja eky’okuna nebakiriza omusango gw’okutulugunya n’okulumya abantu.

Mu ngeri y’emu Abasirikale 10 aba @Uganda Police Force basindikiddwa ku alimanda mu kkomera ly’e Pece okutuusa nga May 7 ku misango gyegimu.

Bano basimbiddwa mu mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti y’e Gulu.