Abasirikale ba Poliisi mulekerawo okufulumya ebiwandiiko bya Poliisi

Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo ku kiwandiiko ekibadde kitambula ku ‘social media’; “Twagala okutegeeza Bannayuganda nti ekiwandiiko ekyafulumye nga kigenda eri ba DPC nga 20-5-2020 nga kiwa ebiragiro ku lockdown nti kyabaddemu ensobi era kyabadde kikyaamu okufulumizibwa kuba kyabadde kya Poliisi.
Kyanaku nti ekitundu ku kiwandiiko kino kyawubisizza Bannayuganda ku biragiro bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ku lockdown na ddi lwetugivaamu era tutya.
Bannayuganda musabiddwa obutakigoberera kukukozesa entambula ey’olukale nezobwannanyini wamu n’okutandika okuggulawo business.
Amadduuka agatunda ebintu ebyabulijjo ebitali mmere wabweru wa arcade, wooteri n’okukozesa emotoka ez’obwannanyini kwakuddamu nga 26.05.2020 era ng’abantu bonna balina okwambala Mask.
Abasirikale bonna mulambuddwa kukusaasanya obubaka obuba bulina okubeera obwa Poliisi munda.”

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply