Abamenye ekitundu ku katale ka St. Balikuddembe Owino tebabadde na lukusa – KCCA
Abamenye ekitundu ku katale ka St. Balikuddembe (Owino) tebabadde na lukusa – KCCA
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku Kibuga Kampala ekya KKampala Capital City Authority – KCCAkivuddeyo kukumenyebwa kwekitundu ekimu ku katale ka St. Balukuddembe akamanyiddwa nga Owino; “Ku ssaawa 4 zennyini ez’ekiro nga 7-March-2026, abantu abatanategeerekeka bamenye ekitundu ku Katale ka St. Balikuddembe ekiri ku nsalosalo z’akatale kano n’omwala gwa Nakivubo ku luguudo lwa Ssebaana nga tebaweereddwa lukusa.
Ekikolwa kino ekikoleddwa mu kifo abakikoze bakikoze tebafunnye ppamiti yakumenya kizimbe okuva mu batawala Ekibuga.
KCCA ngeri wamu n’ebitongole ebirala ekola kyonna ekisboka okutaasa ekyo ekisigaddewo nga bwenoonya nabo abakoze kino babitebye.
UUganda Police Forceyakutte ba Ddereeva ba ziwetiiye ebbiri ezibadde zikozesebwa okumenya ebizimbe nga Poliisi bwenoonyereza.”
#ffemmwemmweffe

