97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Abalamuzi ba Kkooti Ejulirwamu bakendezza ku kibonerezo ekyaweebwa eyasobya ku mwana

Abalamuzi 3 aba Kkooti Ejulirwamu okuli Richard Buteera, Irene Mulyagonja ne Eva Luswata awatali kwesalamu bakkiriza okukendeeza ku kibonerezo ekyali kyaweebwa Joseph Ssempiira ow’emyaka 41 eyasobya ku mwana we ow’omwaka ogumu okuva ku myaka 45 okudda ku myaka 26.
Mu kujulira kwe Sempiira yategeeza nti omulamuzi wa kkooti enkulu yeesigama ku bujulizi bwa mukyala we, Prossy Namirimu ne Christopher Ssegawa bwokka okumusingisa omusango, wadde nga baamulinako ekiruyi.
Ono ayongerako nti omulamuzi mu kumusalira ekibonerezo teyalowooza ku myaka 4 gyeyamala ku alimanda nga tannasalirwa kibonerezo ekintu abalamuzi kyebakkiriza era nebamukendereza ku kibonerezo.

Leave a Reply