Abakulira ebyokwerinda mu nteekateeka yemisinde gyamazaalibwa ga Kabaka batudde okusala enttotto ku ngeri ebyokwerinda gye binaakwatibwamu ku
🎵 Abakulira eby’okwerinda mu nteekateeka y’emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka batudde okusala enttotto ku ngeri eby’okwerinda gye binaakwatibwamu ku lunaku lw’okudduka emisinde gy’amazaalibwa ga Kabaka.
Ebitongole by’okwerinda okuli; UPDF, Police, ne ba memba ku lukiiko oluteesiteesi be beetabye mu lukiiko luno olutudde mu Lubiri e Mmengo.
Umar Mubiru amyuka omubaka w’omukulembeze w’eggwanga mu Lubaga, akakasizza abantu ba Kabaka nti beteeseteese bulungi okuwa obukuumi obumala eri abantu ba Beene abaneetaba mu misinde egiriyo nga 12 Kafuumuulampawu mu Lubiri e Mmengo.
Mubiru awadde obweyamo ku nsonga y’obukuumi bw’atyo akunze abantu ba Buganda bagule emijoozi bajje beetabe mu misinde mu kaweefube w’okulaba nti obulwadde bwa mukenenya bulinnyibwa ku nfeete.
Asabye abantu okukuuma obuntubulamu n’empisa, beewale ebikolwa ebitaataaganya eby’okwerinda.
Emisinde gya kuddukibwa wansi w’omulamwa, Abasajja okubeera Abasaale mu kulwanyisa mukenenya nga bataasa omwana ow’obuwala.
🌐 Soma ebipya: http

