abadde yakateebwa e luzira akubiddwa mizibu

Omunyakuzi w’amasimu mu jjaamu n’ensawo abadde yaakayimbulwa okuva mu kkomera e Luzira bazzeemu okumukwatira mu bubbi! Poliisi eyitiddwa bukubirire okutaasa omu ku basazi b’ensawo ab’olulango abantu gwe bakkakkanyeeko ne bakuba oluvannyuma lw’okumulaba ng’aliko gw’agezaako okusumulula ensawo.
Bino byabadde okulinaana ekizimbe kya Superior Complex abantu bwe bakkakkanye Julius Lugenda oluusi nga eyeeyita Kisambira omu ku basazi b’ensawo ab’olulango ne bamukuba bwe yabadde agezaako okunyaga omutambuze gw’ataategedde nti yabadde ne banne abalala.
Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigyire yagambye nti Lugendo y’omu ku basazi b’ensawo ab’olulango abatigomya Bannakampala
“Abasirikale bayitiddwa bukubirire okutaasa omu ku basazi b’ensawo abantu gwe babadde bagajambula era tuvumirira ekikolwa eky’okutwalira amateeka mu ngalo,” Owoyesigyire bwe yategeezezza.
Yagambye nti Lugendo poliisi yamukwata wiiki bbiri eziyise ku musango gw’okubba essimu n’atwalibwa mu kkooti n’avunaanibwa kyokka ne yeeyimirirwa oluvannyuma lw’abantu be okusasula emitwalo 20 nga February 1, 2019 era olwavuddeyo yatandikiddewo okusala ensawo. Lugendo olwatasiddwa yatwaliddwa ku poliisi ya Mini Price gy’akyakuumirwa.

Leave a Reply