Abaana 2 okuva mu Disitulikiti ye Iganga basibiddwa wiiki 5 buli omu oluvannyuma lwokukiriza omu…
Bano oluvannyuma lwokumala omwezi 1 ne naku 7 ku alimanda basabye offiisi ya DPP nabo okubasobozesa okuganyulwa mu pulogulaamu ya ‘plea-bargain’ egenda mu maaso ngeno esobozesa abavunaanibwa okufuna ebibonerezo ebisaamusaamu oluvannyuma lwokukiriza emisango egibavunaanibwa.
Bano nga bayizi ekibonerezo kyebaweereddwa lye bbanga lyebamaze ku alimanda era bayimbuddwa. Omulamuzi yabakuutidde okwewala ebikolwa nga bino nabasaba okunyweza emisomo gyabwe.
Omwogezi wa Ham Enterprise Karim Nsereko yasabye abazadde okulondoola ennyo ebikolebwa abaana ku masimu.
Bya Christina Nabatanzi
#ffemmwem

