97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Wangaala Ssaabasajja Kabaka – Winnie Kiiza

Omubaka Winnie Kiiza nga ono yakulira oludda oluvuganya Gavumenti era Omubaka akikirira Abakyala b’e Kasese mu Lukiiko olukulu olw’eggwanga naye avuddeyo naweereza obubaka obuyozaayoza Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II olw’okuweza emyaka 25 ku Nnamulondo ya Bajjajaabe.

Amwebazizza olw’okuzaawo ekitiibwa kya Buganda, okuzimba eggwanga wamu n’okulwanirira ebyaffe. Amusabidde okuwangaala emyaka emirala miyitirivu nga alamula Obuganda.

Wangaala ayi Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II

About Mubiru Ali

Leave a Reply