Waliwo abantiisatiisa okunzita – Betty Kamya
Minisita avuunanyizibwa ku nsonga za Kampala Betty Olive Namisango Kamya avuddeyo nategeeza nga bwewaliwo abantu abamutiisatiisa nti era obulamu bwe buli mu katyabaga. Ono agamba nti abamu bagenda ne kuzi Radio neboogera nti gundi nga bwawedde kati Betty yaddako nti n’abalala babiwandiika ne ku social media nga bamulanga okukolera Gavumenti ya NRM.


