Uganda Police Force olunaku olwaleero efulumizza alipoota yomwaka 2025 ku buzzi bwemisango mu Ggwanga ngeraga nti emisango egiwaabiddwa mu 2025
🚨 Uganda Police Force olunaku olwaleero efulumizza alipoota y’omwaka 2025 ku buzzi bw’emisango mu Ggwanga ngeraga nti emisango egiwaabiddwa mu 2025 gikendedde bwogigeerageranya n’omwaka 2024. Okusinziira ku alipoota eno emisango 196,405 gyegyawabibwa mu 2025 so nga mu 2024 gyali 218,715. Ku misango egyawabibwa, emisango 115,301 gyegyatwalibwa mu Office of the Director of Public Prosecutions (DPP), nga ku gino 79,291 gyegyatwalibwa mu Kkooti.
Mu 2024 emisango 24899 gyegyasalibwa era abantu 31,732 nebasalirwa.
🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug

