Twagala bwenkanya mu kalulu kano – Mugisha Muntu
Akwatidde ekibiina kya Alliance for National Transformation-Uganda bendera Rtd. Maj. Gen Mugisha Muntu Gregg olumaze okusunsulwamu nawera; “Tugenda kulaba eggwanga erikiririza mu bwenkanya. Abali mu buyinza batondawo embeera esobozesa buli omu okuvuganya mu bwerufu okusobola okutuuka mu buyinza.”

