BREAKING NEWS
MBU: Copyright dispute: Sheebah Karungi and Team No Sleep clash in court Pulse Uganda: Museveni assents to copyright law, 7 other Acts; Kenzo reacts Pulse Uganda: Inside government's move to tie civil servants’ jobs to performance: New era of reshuffles MBU: Balaam offers support for exhuming Kafeero’s remains for accurate DNA testing East News: JUST IN! Gov’t Explains Delay in Compensating Flood Affected Traders in Kampala East News: UPDF Flags Off Battle Group 47 to Somalia Observer: Serena Hotel porter remanded over missing S.Sudan president’s $12,000 cash Observer: Sovereignty bill is not bad, but passing it in its current form is a miscalculation

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live
Omwogezi wa Uganda Police Force Fred Enanga avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakutte omusajja agambibwa okubeera nga muvuzi wa booda booda eyakwata akatambi nakateeka ku TikTok bweyali atigatiga omuwala atanetuuka.
Ono atageerekese nti ye Joseph Ngoma nga kigambibwa nti yekwata ku katambi ngatigatiga omwana omuwala ow’emyaka 16 n’oluvannyuma akatambi nakateeka ku mukutu gwe ogwa TikTok.
Enanga agamba nti ono yagiddwa e Kitintale gyeyabadde yekukumye. Kigambibwa nti Poliisi y’e Mubende ng’ekolera wamu ne Kampala Metropolitan Police East basobodde okukwata Ngoma eyabategeezezza nti akatambi kano yakakwata nga 4-May, omuwala owemyaka 16 bweyalinnya booda booda okugenda okusoma mu luwummula nti wabula bwebatuuka mu ka Ttawuni k’e Madudu, Ngoma namulimba nti yalina ebintu byayagala okukima ewuwe, nti bavuga mita nga 100 ku luguudo lwa Madudu – Mubende nti wabula Ngoma yakyaama ku bbaala eriko ne loogi nasasula okufuna room.
Enanga agamba nti Ngoma yasaba omuwala agende amusitulireko ebintu nti wabula bwebatuuka munda namusikambula natandika okukwata akatambi nga bwamutigatiga era oluvannyuma namusobyako. Ono bweyamala ebikolwa bye yalagira omuwala okuddayo ewaabwe. Nga wayise enaku 4 Maama w’omuwala yalaba akatambi era nawaaba ku Poliisi e Mubende. Omuwala yatwalibwa nakeberebwa okulaba nti oba yasobezebwako, era oluvannyuma natwala Poliisi ku Lodge webamutwala gyebakwatira Sylvia Nankinga naggulwako omusango gwokuyambako okusobya ku mwana.