Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya…
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nategeeza nti Ssentebe wa Kakiiko kebyakulonda mu NUP aka Election Management Committee Harriet Chemtai, bweywambiddwa mubukambwe mu kiro ekikeesezza olwaleero okuva mu maka ge e Kapchorwa. Okusinziira ku ba famire bagamba nti abasajja ababadde babagalidde emigemerawala balumbye amaka nebamulagira agende nabo nti wabula abantu bokukyalo bagezezzaako okubalemesa nebakuba amasasi okubagumbulula.
Rubongoya agamba nti ono bamuvuze bamwolekeza Mbale naye tebanamanya mayitire ge.
#ffemmwemmweffe


