Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimiddwa olwa kaweefube wokulwanyisa mukenenya.
Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimiddwa olwa kaweefube w’okulwanyisa mukenenya.
Engule esiima Nnyinimu Kabaka Mutebi II, aba Uganda AIDS Commission bagikwasizza Katikkiro Charles Peter Mayiga bwe bazze embuga okuwa alipoota ku kaweefube w’okulwanyisa mukenenya bw’atambudde okuva mu 2020.
Dr. Nelson Musoba akulira UAC mu alipoota gy’awadde ategeezezza nti omuwendo gw’abantu abakwatibwa akawuka gukendedde; abeekebeza beyongedde, ate n’abanywa eddagala nabo beyongedde obungi.
Katikkiro Mayiga agamba nti kaweefube w’okulwanyisa mukenenya yetaaga eŋŋoma #GgwangaMujje abantu bonna okukwatira awamu okugoba mukenenya mu Uganda, bwatyo yebazizza aba UAC olw’omukago gwe balina n’Obwakabaka n’abeebaza n’olwokusiima Omuteregga.
Wabaddewo okuteeka emikono mu ndagaano ey’okuzza obuggya omukago wakati wa Buganda ne Uganda Aids Commission okulwanyisa n’okumalawo mukenenya omwaka 2030 we gunaatuukira.
#ffemmwemmweffe
#EndAIDS2030


