Rukundo asuuliddwa ku ddwaliro e Mulago
Omuvubuka amanyiddwa nga Victor Rukundo nga ono yagambibwa okuba nga yalabikira mu katambi nga atulugunyizibwa omusajja eyali ayambadde ekyambalo ekyefanaanyirizaako ekya UPDF nga amukuba bwamubuuza bibiinaki ebyobwannakyewa ebivujirira Bobi Wine ensimbi yasangiddwa nga asuuliddwa okumpi n’eddwaliro ly’e Mulago ku ssaawa nga kkumi ez’okumakya.
Rukundo agamba yakwatibwa abasajja abaali mu ngoye ezabulijjo nga balina basitoola nga bano bamusanga Wandegeya bweyali mu meeting ne banne.


