Breaking
News: Katikkiro Charles Peter Mayiga Akawungeezi ka leero ŋŋenzeeko mu maka gomugenzi Alex Mukulu, okukubagiza abenju nabooluganda olwokuviibwako News: Olutindo -Kakande- Kivumbi tanatereera. Balaam tamanyi kyakola, kati awoze order mbu yali advise. News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Tukulinze
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 521 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

District ye Masaka edizza Buganda ekizimbe kyayo

August 29, 2019 · Mubiru Ali

Abakulembeze ba District ye Masaka nga bakulembeddwamu Ssentebe LC5 Jude Mbabaali baddizza obwakabaka ekizimbe kyayo mwebamaze ebbanga lya myaka egisoba mu 50. Ekizimbe ekiweereddwayo ye nnyumba ya Pookino entongole era naye abaddewo ku mukolo guno.

Ssentebe Jude Mbabaali akwasizza mu butongole Minisita omubeezi owa Gavumenti ez’ebitundu Owek Joseph Kawuki ekizimbe kino era neyebaza obwakabaka okubagumiikiriza nebakoleramu emirimu gyabwe ebbanga eryo lyonna.

Mu balala abaddewo nga omukolo guno gugenda mu maaso, ye Minisita w’abavubuka, emizannyo n’okwewummuza Henry Sekabembe Kiberu, omumyuka wa Pookino Mwalimu Kato Abdullah, akulira eby’emirimu ku district ye Masaka, abakozi ku b district n’abakungu abalala bangi.

Kinajjukirwa nti mu mwaka gwa 2013 Ssaabasajja Kabaka n’omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni bassa omukono ku ndagaano ey’okuddiza Buganda ebintu byayo omuli embuga z’amasaza n’amagombolola, King Fahad plaza, n’ebirala bingi. Wabula n’okutuusa kati waliwo bingi ebitannateekebwa mu nkola kwebyo ebyakkaanyizibwako mu ndagaano ya 2013.