Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akukulumidde aboludda oluvuganya Gavumenti…
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni akukulumidde ab’oludda oluvuganya Gavumenti mu Disitulikiti ye Kassanda bagambye nti balya ssente zonna eziweerezebwa okukola enguudo olwo abantu n’ebalya enfuufu kwossa n’ebinnya mu nguudo ebisusse.
Nga asinziira ku lukungaana lwokunoonya akalulu lwakubye ku kisaawe kya Town Council ye Bukuya, Museveni yagambye nti Disitulikiti ziweebwa akawumbi kalamba buli mwaka okudaabiriza enguudo kyokka kimwewuunyisizza nga yonna gyayise binya n’anfuufu ate bwetonya n’egubula asala olwo obuseerezi ne bisooto nebifuuka baana baliwo.
Museveni yagambye nti bbo nga Gavumenti beetegefu okuweereza ssente endala okutereeza enguudo zino nga kyebalina okukola kwekulonda abantu abasobola okukola.
Bya Barbara Nabukenya
#ffemmwemmweffe
#ugandadecides2026
#ProtectingTheGains


