Breaking
News: Bishop wa North Karamoja Diocese, Rt. Rev. News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki?
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 662 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Abataka mwatuweebudde nnyo – Owek. Henry Mubiru

August 28, 2023 · Mubiru Ali

Omukiise wa Ssuubi lya Buganda mu lukiiko lwa Buganda, Owek. Henry Mubiru Kasakya avumiridde abataka b’Ebika abagambibwa okuba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yabagulidde ettaka oluvannyuma lw’okumusisinkana n’aluŋŋamya nti kino bakikola mu bukyamu. Ono agamba nti Abataka ssiga ddene nnyo mu Bwakabaka era alyawulamu abeera anafuya Buganda n’asaba olukiiko okuyingira mu nsonga eno bataase ebinaddirira.