97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live

Pulezidenti alina okussa ekitiibwa mu baakulembera – Besigye

Col Dr.Kizza Besigye eyakwatira ekibiina kya FDC bendera ku kuvuganya ku ntebe y’eggwanga agamba nti omukulembeze w’eggwanga lino addako alina okugondera bannayuganda kyebagamba.

Okwogera bino, Besigye yabadde mu lukungaana lweyakubye ku Liberation Square mu kibuga Masaka mu ssaza ly’e Buddu. Asinzidde wano n’ategeeza nti Pulezidenti alina okussa ekitiibwa mu bakulembera ate n’okugondera ebyo byebaagala.

Agamba nti okutuuka ku kino, bannayuganda balina okufungiza era nga bamwegattako mu kisinde kino era nti ttiimu ye gyalina neetegefu okuliisa bannansi enjiri eno ku ngeri gyekinaakolebwamu.

About Mubiru Ali

Leave a Reply