BREAKING NEWS
East News: Kataka FC Complete League Derby Double Over Mbale Heroes at Mbale Stadium East News: Constitutional Court Nullifies Key Provisions of Computer Misuse Law MBU: Constitutional Court declares Computer Misuse Act null and void MBU: Protected: Zuri Ride: Redefining Personal Transportation – Royal Jeff Ventures Into Taxi Business Red Pepper: Dr.Kezaabu’s Porn Committee Grounded as Cash Dries Up Observer: Gov’t seeks parliamentary approval for Shs 6 trillion already spent last year Red Pepper: WOMB WAR IN MBARARA! Experts Sound Alarm Over Hike in Deaths Among Young Women Due to Unsafe Abortion Observer: M23 rebels: Entebbe mayor Rwalinda loses Shs 273m case against Stanbic bank Pulse Uganda: Ugandan scientists build Africa’s first robot tour guide Pulse Uganda: Expert shows why Bobi Wine fleeing to exile improves his chances at presidency

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi eri bulindaala nga ekikopo kya World Cup kitandika

Oluvannyuma lwa bbomu ezatta abantu abali balaba omupiira gw’ekikopo ky’ensi yonna mu 2010 mu Kampala mu bifo ebyenjawulo, Poliisi egamba nti ku mulundi guno eri bulindaala wamu n’ebitongole ebirala eby’ebyokwerinda.

Ebitongole eby’enjawulo muby’okwerinda bitaddewo enteekateeka ez’enjawulo ezinayamba Bannayuganda okunyumirwa obulungi ekikopo ky’omupiira eky’ensi yonna.

Nga ayogerako ne bannamawulire e Naguru ku kitebe kya Poliisi, Omuduumizi wa Kampala Metropolitan CP. Moses Kafeero Kabugo yagambye nti ebitongole byebyokwerinda biri bulindaala okulaba nti buli omu annyumirwa omupiira awatali buzibu bwonna.

Mr. Kafeero yasabye Bannayuganda bonna okubeera obulindaala era n’okufaayo okulaba nti bakuuma bulungi amaka gaabwe, okutegeeza poliisi singa balaba ebitereke ebirekeddwa ettayo, abantu ababeera ennyo ku masimu nga emipiira gigenda mu maaso mu bifo awalabirwa emipiira, abantu abambadde ebi jacket nabalina ensawo ennene ennyo.

SCP David Wasswa, nga ono yakulira ekitongole kya Poliisi ekirwanyisa obutujju yagumiza Bannayuganda nti ekitongole kyakulembera kiri bulindaala era nasaba abantu okukolera awamu ne Poliisi. Yajjukiza abantu ennamba kwebayinza okukuba okuyambibwa;  0800199399, 080019969 ne 999.

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply