Poliisi ekutte omuvubuka amenya amayumba
Poliisi y’e Nansana ekutte omuvubuka Moses Muwanguzi 24 nga mutuuze w’e Namungoona Luyinja, ono asangiddwa ne TV za Flat Screen eziwerako mu size n’ebika eby’enjawulo. Ono bweyakwatiddwa yasibiddwa annyonyole era alage obwannanyini bwa TV zino ekyamulemye. Kirowoozebw nti Muwanguzi abadde yenyigira mukumenya amayumba mu Nansana emyezi egiyise.
Poliisi egamba nti yatemezeddwako abatuuze ababadde bewuunya omuvubuka ku kitundu aleeta TV za Flat buli luvannyuma lwanaku 4. Ku TV ezasangiddwa ne Muwanguzi 2 zazuuliddwa bannanyinizo era nga bagamba ennyumba zaabwe zamenyebwa nebatwalirako ebintu ebirala bingi nnyo.


