Poliisi ekutte abasajja 10 n’amajambiya
Poliisi e Mukono ekoze kikwekweto mwezuulidde amajambiya agawerako nekwata n’abantu 10 nga babadde bekukumye mu nnyumba etanaggwa e Ntenjeru. Kino kibaddewo oluvannyuma lw’abantu okwekubira enduulu ku bantu abamenya amayumba gaabwe era waliwo omukyala omu eyayingiriddwa nebamusala okugulu nga bamusaba ebintu byalina mu nnyumba wabula ono natasibwa Poliisi.


