BREAKING NEWS
MBU: Mark Da Urban is ‘unserious’ about success – Buchaman MBU: Eddy Kenzo accuses MPs of being compromised in copyright law amendment resistance Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: Expert shows why Bobi Wine fleeing to exile improves his chances at presidency Pulse Uganda: Archbishop Kazimba set to retire, see those who served before him

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live

Poliisi ekutte abantu 7 abagambibwa okukukusa ebiragalalagala ku kisaawe

Poliisi ku kisaawe Entebe ekutte abantu 7 lwa kukukusa biragalalagala. nesobola okuzuula kiro 16 eza Heroin. Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire akakasizza kino nategeeza nti abamu ku bbo bakozi ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nga bakola nga ba Clearing Agents.
Bano kuliko Nansamba Zam Salim 28, nga musuubuzi era omutuuze w’e Kawempe-Kulukadde, Luwemba Andrew Kwagalakwe 32, nga Clearing Agent akola ne Kkampuni ya Confanent consult Co. Entebe nga mutuuze w’e Lugonjo Nakiwogo Zone, Musinguzi Elly 53, Clearing Agent owa Kkampuni ya Answer Agencies clearing firm nga mutuuze w’e Kabojja Kyengera mu Wakiso ne Matcha Lobato Manbacar Munnansi wa Burundi nga alina ebiwandiiko bya Belgium.
Poliisi egamba nti nga 09 – May – 2019, bafuna obubaka okuva mu Das Cargo Export nti waliwo omugugu ogulimu engato z’amasanda, ‘craft open shoes’, ‘craft lady’s handbags’, ‘beads’ n’ebirala nga birowoozebwa okubeeramu ebiragalalagala ekyabaleetera okukwata Nansamba Zam Salim, eyali abiweereza ne Luwemba Andrew, Clearing Agent, Poliisi y’okukisaawe yategeezeddwa nekwata engatto emigogo 30 mweyasanze kiro 6 eza heroin.
Poliisi era egamba nti era nga 11-May-2019 yatemezeddwako aba Das Cargo Export nti waliwo omugugu ogwabadde gutwalibwa mu Liberia nga mulimu obusawo bw’abakazi, ensawo eziweekebwa wamu neza bakyala nga zirowoozebwa okubeeramu ebiragalalagala nga kigambibwa nti byali bikoleddwako Clearing Agent amanyiddwa nga Musinguzi Elly nga gwali gwa Agnuwa Theopius, munnansi wa Nigeria eyadduse. Omugugu bwegwasumuluddwa ku nsawo 60, 45 zasangiddwamu ebbaasa nga zirimu ebintu ebirowoozebwa okubeera ebiragalalagala nga biweza kiro 6

About Mubiru Ali

Radio Simba News Team — Broadcasting from Kampala, Uganda on 97.3 FM and online at www.radiosimba.ug

Leave a Reply