Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Ennyimba Ezaffe ▶ UP NEXT Emambya ESaze 4:00 AM - 7:00 AM
Now Playing ยท 282 listening Simba FM Live
ennyimba show photo

On Air

Ennyimba Ezaffe

Mc Kakos Soldier

Sampling the most listened to songs from Uganda 12:00 AM - 4:00 AM

Poliisi ekutte abantu 7 abagambibwa okukukusa ebiragalalagala ku kisaawe

May 14, 2019 · Mubiru Ali

Poliisi ku kisaawe Entebe ekutte abantu 7 lwa kukukusa biragalalagala. nesobola okuzuula kiro 16 eza Heroin. Amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emiriraano Luke Owoyesigire akakasizza kino nategeeza nti abamu ku bbo bakozi ku kisaawe ky’ennyonyi Entebe nga bakola nga ba Clearing Agents.
Bano kuliko Nansamba Zam Salim 28, nga musuubuzi era omutuuze w’e Kawempe-Kulukadde, Luwemba Andrew Kwagalakwe 32, nga Clearing Agent akola ne Kkampuni ya Confanent consult Co. Entebe nga mutuuze w’e Lugonjo Nakiwogo Zone, Musinguzi Elly 53, Clearing Agent owa Kkampuni ya Answer Agencies clearing firm nga mutuuze w’e Kabojja Kyengera mu Wakiso ne Matcha Lobato Manbacar Munnansi wa Burundi nga alina ebiwandiiko bya Belgium.
Poliisi egamba nti nga 09 – May – 2019, bafuna obubaka okuva mu Das Cargo Export nti waliwo omugugu ogulimu engato z’amasanda, ‘craft open shoes’, ‘craft ladyโ€™s handbags’, ‘beads’ n’ebirala nga birowoozebwa okubeeramu ebiragalalagala ekyabaleetera okukwata Nansamba Zam Salim, eyali abiweereza ne Luwemba Andrew, Clearing Agent, Poliisi y’okukisaawe yategeezeddwa nekwata engatto emigogo 30 mweyasanze kiro 6 eza heroin.
Poliisi era egamba nti era nga 11-May-2019 yatemezeddwako aba Das Cargo Export nti waliwo omugugu ogwabadde gutwalibwa mu Liberia nga mulimu obusawo bw’abakazi, ensawo eziweekebwa wamu neza bakyala nga zirowoozebwa okubeeramu ebiragalalagala nga kigambibwa nti byali bikoleddwako Clearing Agent amanyiddwa nga Musinguzi Elly nga gwali gwa Agnuwa Theopius, munnansi wa Nigeria eyadduse. Omugugu bwegwasumuluddwa ku nsawo 60, 45 zasangiddwamu ebbaasa nga zirimu ebintu ebirowoozebwa okubeera ebiragalalagala nga biweza kiro 6