Poliisi ekutte abamenyi b’amateeka 449
Olunaku lw’eggulo Poliisi yakoze ekikwekweto mu Kisenyi ne Katanga nekwata abamenyi b’amateeka 449. Mu kikwekweto kino Poliisi yasobodde okuzuuliramu enjaga, ebyuuma ebikozesebwa ababbi okumenya amayumba wamu n’obwambe.Abakwatiddwa bakuumirwa ku Poliisi y’e Katwe, Wandegeya ne Old Kampala.Bano bakuvunaanibwa emisango omuli okusangibwa n’ebiragalalagala wamu n’ebintu ebibbe.

