Breaking
News: Okwewandiisa mu Ngule kugenda mu maaso wano e Bukoto ku Simba. Yanguwako tukulinze. News: Hon. Amelia Kyambadde atabukidde eyali Omubaka Hon. News: OLUTINDO-Hon. Ssekitooleko-Omusolo gwowa olina gulabira Mulago mu Ddwaliro! Omusolo gususse gulagawa
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 526 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM

Ababaka ba NRM abawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti bagobeddwa mu lukiiko lwa NRM

October 13, 2017 · Mubiru Ali

Nampala w’ababaka ba NRM mu Palamenti, Ruth Nankabirwa agaanye ababaka mu Palamenti aba NRM abawakanya eky’okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti okwetaba mu lukungaana lw’ababaka ba NRM olutudde olwaleero mwebaagala okuyita okutema empenda z’okwagazisa abantu eky’okuggya ekkomo ku myaka gy’omukulembeze w’eggwanga

Nankabirwa agamba nti ababaka bano baabeeyawulako mu kuwagira ensonga eno era nebagiwakanyiza ddala n’olwekyo tewali nsonga ebeetabya mu lukiiko luno.

Mu bano mulimu;Gaffa Mbwatekamwa ow’essaza ly’e Kasambya, Patrick Nsamba owa Kasanda ey’amambvuka , Monica Amoding omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Kumi,Barnabas Tinkasimire owa Buyaga , Theodore Sekikubo owa ow’essaza ly’e Lwemiyaga n’abalala .